Mpanga Lyrics – Livingstone Kasozi Lyrics

Mpanga
Mpanga ono
Eeeh?
Oba nno omwana wa wano leero asiibye wa?
Mpanga ono!
Baani abammanyiira abo?
Ani oyo ayitaba ng’akabe?
Aah nze saagala kundeebeeta buli gye mba
Munzigyeko olunderebu
Mpanga ani gw’ovuma?
Gw’ovuma omutegeera?
Eh! wangi maama mbadde sitegedde nti gw’ampita
Wangi maama obwedda oli ludda wa?
Ngi maama?
Obwedda oli ludda wa?
Yii maama naye abuuza tolaba ekidomola?
Mbadde ku luzzi nga nkima mazzi
Obadde ku luzzi n’ako akatundu k’oleeseemu
Nkole ntya gwe esajja ekkulu?
Oh ssebo agaana gali ku luzzi
Tegakkiriza muntu yenna kusena mazzi
Obwedda buli akiikamu ekidomola
Nga gatukuba bikonde mutwe
Mutabani wa Yekoyaada hmm
Wagenze kulwana?
Aah nze sirwanye, bo be bankubye
Nze ne ndeeta amazzi

Eh maama!
Ku ssiyaani yange nga sirabako mmere
Temwanterekedde mmere?
Maama wano waliwo omukazi gwe wawasizaawo
Gw’osaba emmere
Yi maama era mazima n’olwaleero temunterekedde mmere?
Kati zino ennaku ssatu ssirya mmere waka wano!
Maama ojje owase
Oba wano waliwo nnyoko nno gw’osaba emmere lundeeteko
Yi ha kale maama eby’emmere tubiveeko
Naye maama mazima nkubuulire
Ekintu ekirala
Mazima tubadde ku luzzi nga nze nzekka nze sambadde
Ng’abaana bonna bambadde amasaati
Nga bambadde gano amasaati amapya
Aga… ge bayita ga zaalo
Naye nga nze nzekka mukadde nze sambadde, hmm
Kati nkole ntya nkugulire?
Aah maama kye mbadde ŋamba
Nti singa kale ekyo ekikubiro kye weesibizza
Ndaba kyali kya gomesi ya maama
Singa okimpadde ne bantungiramu akasaati
Ani yaggamba nti kyali kya nnyoko?
Mu kifo ky’onkusaba obusabi ojuliza nnyoko
Kyali kya maama
Anti ani yaggamba nti kyali kya nnyoko?
Kyali kya maama
Kati nno oba kyali kya nnyoko genda akugulire ekirala

Maama wange leero wulira ekindaaza
Maama wange leero wulira ekinkalaza
Njagala nkubuulire mu maka muno ekinnyiiza
Ky’ondaba …
Kyova ondaba ng’oluusi nnyongobera
N’oluusi n’ompita nga mpulira ne nsirika
Njagala nkubbireko mu maka muno mpisibwa bubi
Njagala nkubbireko mu maka muno mpisibwa bubi
Engeri gy’ompisa nze ku lwange ennyogontola
Enzijukiza ne mmange eyanfaako
Gwe buli ekikolebwa mu maka muno ne kisoba
Ekyo kisibibwa ku nze mazima ddala
Ate nebwenkola ekirungi gwe tokimanya
Wabula okumpaayiriza ewa kitange ataba waka
Naye olukomawo n’ayomba n’akamala
N’oluusi n’ankuba era n’emmere n’ennyimibwa
Ne mba ng’omwana atazaalibwa nannyinimu
Ne nkirako omuddu gwe baanyaga ebunaayira
Ekyo mazima kindi bubi nze nkooye

Jangu onkube anti wanvumye dda ebitama
Nze sinnagambako nti njagala kukuba
Maama omuswaswangule gw’omwana gubadde ki?
Okundalukirako ku makya kuno onjagaza ki?
Oba nga by’okola ebya mbyone bikulemye
Nze tommanyiira ssiri mwannyoko nkujjukiza
Nnyoko gw’oloma nti yafa nze namuloga?
Nange njagala omanye nti owange simulina
Wabula kye ndabawo gwe omwami akaggyadde
Bwoba owulira mu maka muno oyisibwa bubi
Ng’oyagala kuba wekka gwe ne kitaawo
Oba ebintu bye ndya omwa kitaawo by’ebikukalaza
Ka ngye mbaviire mu maka mulyoke musanyuke
Yii mwana gwe ng’osusse okumanyiira!
Osigadde kunkuba mbirabye ka ngye nveewo mweyagale
Ne kitaawo k’ajje akomewo mbimugambe
Shaaa! Maama!

Yiii!
Yiii naye maama ng’oli muzibu!
Yiii naye maama ng’oli muzibu!
Ttondo ekigambo kye njogedde kintu kitono
Naye laba kati ate gwe okizimbulukusa
Nze sinnagamba nti by’olya by’ebinkalaza
N’ekyokuva mu maka muno ssi ky’ekinsanyusa
Nze sigambye nti ndi mwannyoko nkumanyiira
Kuba ekitiibwa kyo nkikuwa mu ngeri emala
Naye gwe maama gw’ompisa anti mu ngeri embi
Gyova otasiima buli kye nkola n’ompalana
Ne mba nga muggyawo mu maka muno ekyewuunyisa
Osaana kwekuba mutima weetunulemu
Nga bwe wazaalako naawe osaana okumanya
Singa abadde wuwo muli ddala owulira otya?

Laba musege gwe togeza okundaba mu kamwa
N’ekyokumpita nnyoko kikomye nze sikyeguya
Amabeere agange tegayonsa misegula
Ndowooza weeraba muli okuze ovubuse nnyo
Weefudde nnyinimu mu maka muno ojje olamule
Nga zinsanze nnyo Nakawunde okujoogebwa
Ndowooza kangalamire onkube olyoke oweere
Aah jangu okube taata
Nze nvaako maama, nze nvaako
Nkugambyeko nti njagala kukuba?
Nze saagala kumpaayirizanga
Kati onoonya w’onompaayiririzanga mu ngeri etaliimu
Nze saagala kumpaayiriza aah, eh maama!
Ne taata wuuyo akomyewo, taata
Taata wuuyo akomyewo
Kulikayo taata
Kulikayo taata (eeh)
Kulikayo taata (eh nvuddeyo)
Kulikayo taata (nvuddeyo)
Hmmm (eh)
Kulikayo taata (nvuddeyo)

Aah ebintu babireese? (ngi?)
Ebintu babireese?
Ee ee ebintu maama y’abirina
Mpulira nkooye omanyi GASO ezo zidduka nnyo
Ate oluguudo lw’e Masaka
Ne zitukuba kwegamba mu bifunvu ne eh!
Ne tuwulira bubi
Ova Masaka taata?
Nva Masaka
Ogidde mu GASO?
Eh nzijidde mu GASO
Kulikayo nnyo
Eh (hmmm)
Wasomye? (Ngi?)
Wasomye?
Mbadde nkima mazzi obwenkya
Nnaalongo nga gwe tonyega?

Ssebo mwami munnange obufumbo bunnemye
Mpanga ky’ankoze mu maka muno olwaleero
Katono ankube era n’amatu agansaleko
Omwana n’anvuma nzenna n’anseseggula
N’anvumira emmere mu maka muno nze gye nnima
Ennyama gy’ogula mbu oluusi ngimulyako
Ng’ate mukulussanya nga mutuma by’atamanyi
Olaba amagufa ga nnyange aganzijukiza
Ennaku gye ndabye mu maka muno sigimanyi
Wabula kye ndabawo nze mwami nkubbireko
Kirabika mu maka nze nfuuse omuntu omubi
Ka ngye mbisibe mbaleke mulyoke musanyuke
Oyo omwana wo oba alabika ankyaye nnyo
Leero lw’olituleka mu nju talintugumbula?
Eh maama, sirina galittibwa muswaswangule gwa mwana wo
Kaakati Nnaalongo nze mbadde ŋamba
Togamba bwotyo nti omwana akulemesezza
Kubanga omwana bwe mba muzaala
Naawe oba omuzaala
Kati no n’olwekyo
Mbadde njagala tugunjule omwana waffe nga tuli babiri
Oba nga tusazeewo mukuba nga tumukuba
Oba tusazeewo musiba miguwa nga tumusiba emiguwa
Oba kumutta nga tumutta naye ate munnange bw’ogenda
Nze on’ondekera ani?

Mpanga!
Mpanga we? (ngi?)
Mpanga? (wangi?)
Eh, yanguwa wano (nzuuno ssebo)
Yanguwa, wano, wano
Tuula, yanguwa (lindako taata)
Tuula wansi (ntudde taata)
Eh! (ntudde ssebo)

Eh, Mpanga obuyinza obuggye wa?
Kw’osinzidde olyoke ovume nnyoko engeri eyo?
Nze sinnamuvuma taata alimba
Ndowooza owulira ogezze nnyo (hmm)
Osigadde kunkuba olw’evvubuka erikuwaga
Nedda taata
Anti mulabe bw’amaguka
Ndowooza weeraba maka muno oli nnyinimu
Nedda ssebo
Aah ah muvubuka kye mbuuza
Kikyo ki ky’olina mu maka gano ekikuzimbya?
Sirina na kimu
Emirimu gyomumaka, ono nnyoko
Ndaba akola bw’omu afaabiina
Yiii nange nkola!
Okeera ku makya n’otalika
Ebyalo bya kuno n’obibuna oyenjeera
Yiii!
Wano ndaba oleeta tulo
N’oluusi enjala lw’ekuluma ojjirira kulya
Emmere tebampa
Ekyo nekitamala, ate odde ku nnyoko andabirira ojje ojooge?
Owange ng’oli muzibu!

Gwe Mpanga (ngi?)
Owulira bye nkugamba? (mpulidde)
Leero ke nkukwatako obulungi onomendegera
Nedda ssebo
Ne nnyoko emagombe gyali anaaboloboota, eh!
Leero ke nkukwatako obulungi onomendegera
Ne nnyoko emagombe gyali anaabulubuuta, eh!

Leero ke nkukwatako obulungi onomendegera
Ne nnyoko emagombe gyali anaaboloboota, eh!
Era bwoba mugezi mu maka muno ojje oveemu
Nze sigendebwa ku mutwe ng’ensiko ebuze
Wamma mukyala munnange kye nkubuulira
Ebigambo by’omwana tebikunobya
Yingira gwe mu nju eno ne nkulisaayo, tweyagale

Wuuwi nga Mpanga zinsanze!
Yaaye nga Mpanga zinsanze!
Ne walumbe eyanyaga nnyabo y’ansoona
Gwe singa abadde mulamu
Buno obunaku sandibulabye obundaaza
Ate nga y’anzaala omu
Singa tubadde babiri nandigumye oba?
Ye singa lubuto lwavaamu
Nze eby’ensi eno sandibirabye ebindaaza
Bwebyali ebya nnyabo ebyandekerwa
Omukazi muka kitange ono y’abinzigyako
Ate okwo kw’ayima n’andaaza
Laba nebwenjogeddeko nfuuse mubi
Olaba ne kitange ddala ddala
Yeekobaana n’omukazi ne bandoobya
Yenze kaakati neekole ki?
Okufuna omuguwa ne neetuga kisingako oba
Yiii yiiii yiiii…
Ate ng’era nakyo sikisobola
Mpozzi ka mbule ŋende mu nsiko nsule eyo
Yiyi nga Mpanga ndaaze nnyo
Yiyi nga Mpanga nkaabye nnyo
Yiyi nga ndaaga ndaaze nnyo
Oba ŋende ewa kojjange e Butambala
Oba no ananzikiriza
Ka mmale gagenda ntyo nga nvuyana
Omuzirakisa ayagala anajja n’anjuna
Ssebo kitange kambaleke ne mukazi wo mweyagale
Yiii yiiii yiiii
Yiii yiiii yiiii…

Kaakati okolima?
Nze nvaako
Era nsitukira mangu onviire mu maka gange
Nze nvaako kale maama
Toddiranga ddala
Yiii yiiii yiiii…
Nze nvaako kale maama
Katonda alibalaba emisana n’ekiro
Yiii yiiii yiiii…
Yiii yiiii yiiii…