Endabada mwattu ojje ogule Engoye empanvu endabada Laba ndigenda n’agula empanvu endabada (R) Omwoyo, omwoyo gwa bano abayita obukunya Koona obugoma Obugoma obuwooma n’engalo ossaako Nange ssibuuze Anti ekintu ekinnyiga mpulira kindi bubi Wulira abeebuuza Ntino omukyala w’eŋŋoma oba nno abadde atya? Ssirina kye mbadde Abakyala ba luno mmwe muntawaanya Nze kinnuma nnyo Okubagamba ebigambo byange ate ne mwepena Ne neebuuza Lwaki abaana ba luno mbagamba mweremye? Okutuusa lwe nkizudde Ntino mwaddukira eno awali ebidongo Nze ne bwenjogera Obugere ne mbufuula eŋŋoma mwazeepena Obwana n’obugambako Anti muwoza kimu ebyo nno by’abagoma Kale ne wewuunya! Omwana wa Jjagwe bw’akyawa eŋŋoma Era ne webuuza! Baki abalirwana ng’ebyaffe bisaanawo? Nange ne mbakunduwa, ka channel ne nkakyusa Mbasange mu bidongo
Abange endabada ŋambye mwambale Engoye empanvu endabada Laba ndigenda n’agula empanvu endabada (R) Ba nakazadde b’eggwanga mwambale Engoye nga nze ze nina Kubanga eby’okukunama Mutuswaza nnyo era ffe twatamiddwa N’abaami baagambye Nti bye mubalaga nabo nno baakooye Mmwe abaana bawala Ŋambye mwambale engoye empanvu endabada Ne bweriba ttooke Eriboobedde ly’eriwoomera anaalya Abange ekiriwoomya Balibikka nnyo eryo ne libuna endagala Naye mmwe mwayanamye Nti n’akabugumu nako ne kaggwaamu Laba bwe munnyogoga N’abo ababakwatako ne bawulira emigogo Era ne mwebuuza Nga babuze ababatwala baakoowa emigogo Weekubye mu mawulire Nti otudde weebambye mbu onoonya atwala! Ani oyo atwala! Ekyennyanja Ssemutundu embajjulemu? Oluguudo lw’emmanju Omukyala ke lulabika obeera otuswazizza Obuwale obw’oluwuzi Nze mbwagala nnyo sikaati ng’ebuniza N’empale empanvu Nze sirina ttabu kasita eba ng’ebunira Yiii abaana ba luno mwe muntawaanya
Tubeera mu takisi omuwala n’avaamu Laba ekitalo Akawale ak’oluwuzi konna nga kasinise Laba ekitalo Ba maama bu appetizer abasajja baakooye Laba ekitalo Bwe twambala ezaffe ennene ezibuniza Nti ebyo bya bakadde Laba bwe munjeregera mothers’ union Nti ezo za bakadde
Nfudde omwoyo Omwoyo gw’amabujje maama gundi bubi Laba ndigenda n’agula empanvu endabada (R) Yiii maama omweyagalire maama ndi bubi Abaana bange ab’obuwala Muwumbe buwumbi temwanjala mutere Abaana mbanenya mpola Naffe ababazaala nga tufuuse emisege Anti ennyonyi enkulu Abange y’eyigiriza ento eno okubuuka Leero nno emizigo Eby’okukunama biba ng’ebyempaka Omwana n’akunama! Ne maama n’akunama! Ne taata n’akunama! Basajja bakulu nammwe abateewa bitiibwa Nammwe mwannyiye Tawulo n’ogisiba Essaawa mukaaga osiibye toyambadde Ebbuto ly’oyolesa Ng’abaana balaba munnange oswaza Omwami kyamutuukako Ku mizigokkumi nga twalaba amawano Yeesiba tawulo, omwana n’asitula Munnange ng’abuusa Omwana ali waggulu, tawulo n’ekutuka N’akawale talina Akwate mwana oba alonde tawulo Ku lulwo ogamba otya? Akeera ku Ssande, mu kapale akampi Gwe n’olaba obugulu Obugulu bw’obugatta n’ebbuto Gwe n’olaba amawano Muvuma abakazi Mbu baabulwa ffiga ezammwe mwazirabye? Wamma abalenzi abato Musabule ebinu nze ettabbu sirina
Endabada ŋambye mwambale Engoye empanvu endabada Laba ndigenda n’agula empanvu endabada (R) Basajjabakulu ŋambye mwambale Empale empanvu endabada Mwana wange Kiwuuwa olondanga bali Abambadde enkunizo Wamma abambala obulungi Bawala bange mbawadde ebbuzi essaata Ne bakyala bannange Mmwe muweesezza ekitiibwa mu ggwanga Muleke ŋende temumpita ayomba Ate nno nga mpabula Leka nveewo temugamba nti nnyombye Ate nno nga mpabula Kaakati ŋenda nze mundabira nnyo Abaana ab’obuwala Mweraba ŋenda nze mundabira nnyo Abaana ab’obuwala Yiiiii yiiii yiiiii! Laba ndigenda n’agula empanvu endabada x3